Tema Modersmål
Persiska
pixel tillbaka till första sidanIn EnglishPå svenska
om modersmål
styrdokument
historia
sagor
grammatik
lexikon
diskussion
åter till Skoldatanätet

 

Ennimi Enzaaliranwa Back

Okusomesa Ennimi Ennimi Enzaaliranwa

Okuwagira okusomesa n’okuyamba

. Olulimi oluzaaliranwa kintu kikulu nnyo eri omwana. Lumuyamba okusobola okumanya n’okulandiza obulungi olulyo lwe.
.Olulimi oluzaaliranwa luwa omwana omusingi omugumu okuyiga ebintu bingi. Omwana ayanguyirwa okuyiga olulimi olulala n’emisomo emirala. Ensi okutwalira awamu eganyulwa bw’eba n’abantu abawera abamanyi ennimi ennyingi.

Waliwo okunoonyereza okukoleddwa ku nsonga eno okulaga obukulu bwayo okukuŋaanyiziddwa ku NORDBAS.

Okuwagira. Okusomesa. Okuyamba. Ani akkirizibwa okusoma olulimi oluzaaliranwa.
Ennimi ezoogerwa abantu ab’omuswaba. Omuntu asaba atya?

Okuwagira ennimi enzaaliranwa kitegeeza ki?

Okusinziira ku ntegeka y’amasomero ga kalimwezi, omwana ayogera olulimi olulala olutali Luswidi aweebwa omukisa okuyiga olulimi olwo. Omusomesa w’olulimi olwo asomesa omwana oyo enfunda eziwera mu wiiki. Bazannya, bayimba, bakuba ebifaananyi. Omusomesa amunyumiza enfumo mu lulimi oluzaaliranwa. Mu ngeri eyo omusomesa ayamba omwana okwenyumiriza mu nsibuko ye. Okunoonyereza kulaze nti omwana amanyi olulimi lwe oluzaaliranwa okuva mu ssomero lya kalimwezi ayanguyirwa emisomo gye mu ssomero lya bulijjo. Olulimi oluzaaliranwa luba ng’entabiro wakati w’olulimi olwogerwa ku ssomero n’olwogerwa awaka.


Ennimi enzaaliranwa mu masomero

Ennimi enzaaliranwa mu masomero agasookerwako n’aga nnakabirye. Ekigendererwa kwe kubangula omwana mu nnimi bbiri. Okusomesa kukolebwa mu ngeri ewagira abaana okwenyumiriza mu nnono zaabwe. Waliwo amateeka agafuga okusomesa ennimi enzaaliranwa. Gannyonnyolwa mu bujjuvu mu “Biwandiiko Ebitongole” (Styrdokument). Abasomesa b’ennimi enzaaliranwa bava mu nsi y’emu ng’abayizi baabwe. Bateekwa okuba nti Oluswidi balukuba budinda era nga bategeera bulungi engeri Swiden gy’eddukanyizibwamu.


Okuyamba mu nnimi enzaaliranwa kye ki?

Abaana ababa baakajja mu Sweden nga tebannayiga Luswidi okusobola okutegeera ebisomesebwa bannyonnyolwa emisomo egyo mu nnimi zaabwe enzaaliranwa. Abazadde n essomero bakkaanya ku bwetaavu bw’omwana agwa mu kiti kino. Omukulu w’essomero y’asalawo ddi omwana oyo lwa anayambibwanga.

Ani ayambibwa mu lulimi lwe oluzaaliranwa?

Abayizi bonna aboogera olulimi olulala olutali Luswidi awaka basobola okusomesebwa mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa. Bwe kiba nti olulimi olwo lwogerebwa abantu ba muswaba omuyizi asobola okusomesebwa olulimi olwo ne bwaba nga talwogera waka buli lunaku. Yadde abaana abalombe abatayogera lulimi lwabwe luzaaliranwa bayinza okulusomesebwa bwe wabaawo ensonga ennyinyonnyofu.

Nnimi ki ezoogerwa abantu ab’omuswaba mu Sweden?

Olusaami, Meän kieli (kika kya Lufiini, lwogerwa mu bukiika kkono bwa Sweden), Romani Chib (Lusigaani). Ekifo ky’ennimi ezoogerwa abantu ob’omuswaba kyakakata mu Sweden, amateeka bwe gaaterezebwa mu 2001 gatuukagane n’ebiragiro bya EU. Ebisingawo ku nnimi zino mu masomero, n’okunoonyereza okukoleddwa bisangibwa ku “Uppsala Universitet”.

Omuzadde asabira atya omwana we ekifo?

Abazadde abandyagadde abaana baabwe basomesebwe ennimi enzaaliranwa basaana batuukirire essomero oba ab’obuyinza mu ggombolola mwe babeera. Abazadde be basalawo ob’omwana waabwe anasomesebwa olulimi oluzaaliranwa, so si ssomero. Kyokka amasomero gasaana okutegeeza abazadde ng’ekiseera kituuse okussaayo okusaba kwabwe. Okusoma olulimi oluzaaliranwa kya kyeyagalire, era tekisasulirwa.

Ani avunaanyizibwa ku kusomesa ennimi enzaaliranwa?

Eggombolola y’evunaanyizibwa ku kusomesa abaana. Eggombolola zirina abbeetu okutegeka emisomo nga bwe zaagala, okusobola okutuukiriza ebigendererwa bya gavumenti. Eggombolola evunaanyizibwa okusomesa olulimi oluzaaliranwa bwe wabaawo abayizi abatakka wansi wa bataano, n’omusomesa omutuufu. Abayizi okuva mu masomero eg’enjawulo agali mu kitundu kye kimu bayinza okukuŋŋaanira mu limu ku masomero ago baweze omuwendo ogwetaagisa.

Entegeka mu masomero ga kalimwezi

Amagombolola ge gavunaanyizibwa ku kutegeka eŋŋunjula y’abaana mu masomero ga kalimwezi, n’okulaba nti entegeka y’okusomesa mu ggwanga etuukirizibwa. Okukula kwa buli mwana kuteekwa okutumbulwa nga n’abazadde beenyigidde mu mulimu guno. Omusomesa w’olulimi oluzaaliranwa agenda mu ssomero omulundi gumu buli wiiki n’abeera n’omwana okumala essaawa eziba wakati w’ebbiri n’omukaaga. Mu kiseera kino omwana omu ku kkumi abasobola okuyiga ennimi enzaaliranwa y’asoma. Omuwendo gw’abaana abo gwa njawulo mu magombolola ag’enjawulo.


Entegeka mu masomero agasookerwako

Okusinziira ku tteeka erifuga amasomero, amagombolola gateekwa okuwa abaana omukisa okuyiga ennimi zaabwe enzaaliranwa. Ensomesa etegekebwa mu ngeri za njawulo mu masomero gano, naye buli muyizi afuna essaawa bbiri oba ssatu buli wiiki z’asomeramu olulimi lwe.

1- Olulimi oluzaaliranwa ng’olulimi olweroboze (bibiina 6 – 9)
Mu kifo ky’okuyiga olulimi olugwira olulala, omuyizi asobola okulondawo okuyiga olulwe oluzaaliranwa

2- Mu bibiina 1 – 9 essomero lisobola okusomesa mu ngeri yaalyo okusinziira
ku muyizi kyaba yerondeddewo. Omuyizi asobola okubangulwa mu ssomo
limu ob’okusingawo, ku ago agasomesebwa mu ssomero eryo
(okugeza, emizannyo ob’okuyimba). Olulimi oluzaaliranwa lusobola okuba
erimu ku masomo ago. Omukulu w’essomero y’asalawo ob’olulimi oluzaali-
ranwa luyinza okusomesebwa. Kino kiyinza okusinziira ku muwendo gwa
abayizi abalondawo okulusoma.

3- Essomero lisobola okweroboza olulimi oluzaaliranwa (mu bibiina 1 – 9).
Waliwo essaawa ezisomesezebwamu ennimi enzaaliranwa, ng’essomero
liba lyerobozezza. Essaawa ezo ziyinza okweyambisibwa okusomesa emisomo emirala egitali gimu. Kisoboka okusomesa ennimi enzaaliranwa, ng’essomero bwe liba lisazeewo.

Okusomesa ennimi enzaaliranwa mu budde obutali bwa ssomero

4- Ennimi enzaaliranwa zisobala okusomesebwa mu budde obutali bwa
ssomero. Abayizi basomesebwa essaawa ez’ensuusuuba buli wiiki.
Omuwendo gw’essaawa ezo gusalibwawo ggombolola.

Entegeka mu mu masomero g’abayizi abalina obwetaavu obw’enjawulo

Abayizi abasomera mu masomero ag’ekika kino nabo basobola okusomesebwa ennimi zaabwe enzaaliranwa. Waliwo entegeka enjawufu ekola ku kusomesa mu masomero gano. Emirundi mingi buli muyizi asomesebwa yekka.


Entegeka mu masomero ga nnakabirye

Abavubuka abatandika mu masomero ga nnakabirye basobola okwongera okusoma ennimi zaabwe ng’enneroboze. Emisomo gyonna mu masomero gano gitwala essaawa 250. Buli ggombolola ewa abayizi baayo omukisa okusoma ennimi zaabwe enzaaliranwa okusinziira ku muwendo gwabwe n’obusobozi bw’eggombolola.


Enkolagana wakati w’abazadde n’essomero

Enkolagana ennungi wakati w’abazadde n’abasomesa yetaagisa. Naddala abasomesa basaana obutanyomoola nnimi nzaaliranwa. Amasomero aga buli kika galina obuvunaanyizibwa okusisinkana abazadde waakiri omulundi gumu buli lusoma okwogera ku ngeri buli muyizi gy’akakkalabyamu emisomo gye. Ku kikwata ku baana abasoma ennimi enzaaliranwa, kiba kituufu omusomesa w’olulimi olwo okuyitibwa naye yeetabe mu nsisinkano ez’ekika kino. Ekigendererwa si musomesa oyo kukola nga muvvuunuzi. Abazadde bwe baba baagala okumanya ebisingawo, baddembe okubisaba babifune mu buwandiike. Mu masomero agasookerwako abayizi bakola ebigezo okutandikira mu kibiina ekyo munaana okugenda waggulu. Utvecklingssamtal



 


   
blå linje
Ansvarig för sidan: justinian.kiwanuka
Senast uppdaterad: 2002-02-04
Skolverket